Zeffaniya 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
Ezeekyeri 21:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Ndikufukako ekiruyi kyange,
ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,
ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,
abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
Amosi 1:14-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
ye n’abakungu be bonna,”
bw’ayogera Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.