Zeffaniya 1:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku lwa Mukama Olukulu
14 (A)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
Zeffaniya 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
Okubikkulirwa 16:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
Read full chapter
Zabbuli 76:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.