Zabbuli 97:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
Isaaya 1:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
ze mweroboza.
Isaaya 44:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
Isaaya 45:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.