Zabbuli 62:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
Matayo 16:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
Read full chapter
Abaruumi 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye.
Read full chapter
2 Abakkolinso 5:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.
Read full chapter
Yeremiya 32:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)ebigendererwa byo nga binene era n’ebikolwa byo nga bikulu. Amaaso go gatunuulidde amakubo gonna ag’abantu, osasula buli muntu ng’enneeyisa ye bweri era ng’ebikolwa bye bwe biri.
Read full chapter
Ezeekyeri 33:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.