Zabbuli 60:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
Isaaya 33:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Zikusanze ggwe omuzikiriza
ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
balikulyamu olukwe.
Isaaya 22:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
Kiri[a] asabuukulula engabo.
Footnotes
- 22:6 Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli
Yeremiya 49:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obubaka ku Eramu
34 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.