Zabbuli 59:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
Zabbuli 101:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Dawudi.
101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Zabbuli 36:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
obwesigwa bwo butuuka ku bire.
Zabbuli 40:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.