Zabbuli 48:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
ne bakyolekera bakirumbe;
Zabbuli 74:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
Zabbuli 74:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
n’okuleekaana okwa buli kiseera.
Yokaana 1:41
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
41 (A)Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo).
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 4:25-26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:
“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,
n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
26 (B)Bakabaka b’ensi
n’abakulembeze,
beegatta okulwanyisa Mukama
n’okulwanyisa Kristo we.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.