Zabbuli 46:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
Isaaya 51:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
mutunuulire ensi wansi!
Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka
n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.
Abagituulamu balifa ng’ensowera.
Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,
so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
Zabbuli 89:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
Isaaya 54:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.