Zabbuli 34:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
Danyeri 6:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 5:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya,
Read full chapter
Yobu 13:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
Zabbuli 26:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
Zabbuli 84:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Yeremiya 17:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
nga Mukama ly’essuubi lye.
Danyeri 3:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.