Zabbuli 29:3-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (B)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (C)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (D)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (E)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (F)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Footnotes
- 29:6 Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.