Zabbuli 24:1-2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
Yokaana 3:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu.
Read full chapter
Abaefeso 4:7-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. 8 (B)Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,
“Bwe yalinnya mu ggulu,
n’atwala omunyago,
n’awa abantu ebirabo.”
9 Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna.
Read full chapter
Zabbuli 104:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
Isaaya 40:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
oba n’apima ensozi ku minzaani,
n’obusozi ku kipima?
Yobu 26:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Asiba amazzi mu bire bye;
ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
Yobu 38:8-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
bwe yava mu lubuto lwayo?
9 “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
Olubereberye 1:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
Read full chapter
Okubikkulirwa 19:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.