Zabbuli 17:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
Isaaya 48:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
Zekkaliya 13:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”
1 Peetero 1:6-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. 7 (B)Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.