Zabbuli 110:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
Footnotes
- 110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.
Ebikolwa by’Abatume 2:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Ebikolwa by’Abatume 2:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’
1 Abakkolinso 15:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye.
Read full chapter
Abaebbulaniya 1:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,
ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
Abaebbulaniya 10:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.