Yuda 14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo.
Read full chapter
Mikka 1:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
Isaaya 13:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Laba olunaku lwa Mukama lujja,
olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
Isaaya 13:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
Isaaya 30:12-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13 (B)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (C)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
Yobu 16:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
Lukka 11:50-51
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
50 Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, 51 (A)okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.