Yoweeri 3:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
n’obusozi bulikulukusa amata,
n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
Yoweeri 2:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be
28 (A)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
abakadde baliroota ebirooto,
n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
Ebikolwa by’Abatume 2:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
n’abakadde baliroota ebirooto.
Isaaya 61:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga
n’abaana baabwe eri abantu.
Abo bonna abalibalaba balibamanya,
nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
Isaaya 65:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.