Yobu 38:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
n’ebigambo ebitaliimu magezi?
Zabbuli 40:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Ayi Mukama Katonda wange,
otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
Zabbuli 131:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
Zabbuli 139:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.