Yobu 37:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
Zabbuli 136:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Ebikolwa by’Abatume 14:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.