Yobu 10:18-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19 Singa satondebwa,
oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
Yeremiya 20:14-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Lukolimirwe
olunaku kwe nazaalirwa!
Olunaku mmange kwe yanzaalira
luleme kuweebwa mukisa!
15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,
agaamusanyusa ennyo,
ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.”
16 (B)Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
17 (C)Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.
Mmange yandibadde entaana yange,
olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.
18 (D)Lwaki nava mu lubuto
okulaba emitawaana n’obuyinike
era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.