Yeremiya 3:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yuda Omukazi Atali Mwesigwa
3 (A)“Omusajja bw’agoba mukazi we,
omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,
omusajja we alimukomyawo nate?
Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?
Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;
naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”
bw’ayogera Mukama.
Yeremiya 3:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,
nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”
Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,
kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
Yoweeri 2:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abantu Bayitibwa Okwenenya
12 (A)Mukama kyava agamba nti,
“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
Yeremiya 35:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.