Yeremiya 12:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
nabo bennyini bakwefuukidde,
beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
wadde nga bakwogerako bulungi.”
Yeremiya 26:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa!
Read full chapter
Yeremiya 26:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”
Read full chapter
Yeremiya 38:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.