Yeremiya 1:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Read full chapter
Yobu 13:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Oteeka ebigere byange mu nvuba,
era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
Yeremiya 37:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
Read full chapter
Yeremiya 38:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini,
Read full chapter
Zekkaliya 14:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.