Yakobo 2:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
Read full chapter
Matayo 5:48
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
48 (A)Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”
Read full chapter
Matayo 6:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okuwa Abaavu
6 (A)“Mwegendereze, ebikolwa byammwe eby’obutuukirivu obutabikoleranga mu lujjudde lw’abantu nga mwagala babasiime, kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo Kitammwe ali mu ggulu talibawa mpeera.”
Read full chapter
Lukka 11:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,
“ ‘Kitaffe,[a]
Erinnya lyo litukuzibwe,
obwakabaka bwo bujje.
Footnotes
- 11:2 Ebitabo ebimu bigamba Kitaffe ali mu ggulu
Lukka 12:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)“Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.
Read full chapter
Abaruumi 8:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.”
Read full chapter
Abaefeso 4:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.
Read full chapter
1 Peetero 1:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno.
Read full chapter
1 Yokaana 1:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo.
Read full chapter
1 Yokaana 3:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abaana ba Katonda
3 (A)Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.