Olubereberye 6:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
Read full chapter
Ezeekyeri 14:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
Read full chapter
Ezeekyeri 28:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Oli mugezi okusinga Danyeri?
Tewali kyama kikukwekeddwa?
Danyeri 1:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya.
Read full chapter
Danyeri 6:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
Read full chapter
Yobu 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yobu n’eby’Amaka ge byonna
1 (A)Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi[a] erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda.
Read full chapterFootnotes
- 1:1 Uzzi yali nsi eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. Yobu teyali Muyisirayiri.
Yobu 42:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.
Read full chapter
Yeremiya 15:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yuda Wakuzikirira
15 (A)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire.
Read full chapter
Ezeekyeri 18:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.