Olubereberye 13:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda.
Read full chapter
Olubereberye 14:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani.
Read full chapter
Olubereberye 14:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.
Read full chapter
Olubereberye 24:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.