Okuva 6:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama.
Read full chapter
Okuva 6:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri.
Read full chapter
Isaaya 43:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
Isaaya 51:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:
Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
Ebyabaleevi 20:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
Read full chapter
Okuva 19:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo by’ojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”
Read full chapter
Ebyabaleevi 19:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
Read full chapter
Zabbuli 99:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
Abaefeso 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe.
Read full chapter
1 Basessaloniika 4:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa.
Read full chapter
1 Peetero 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola.
Read full chapter
1 Peetero 1:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.