Okuva 31:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)“ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe.
Read full chapter
Okuva 31:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa.
Read full chapter
Okuva 35:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga.
Read full chapter
Okuva 35:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.