Okuva 22:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 Naye nannyini yo bw’anaabangawo, taaliyirwenga. Ensolo ng’ebadde epangisibbwa bupangisibwa, omuwendo ogugipangisizza gunaamalanga mu kugisasulira.
Read full chapter
Okuva 22:25-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)“Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 26 (B)Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 27 (C)kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 24:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.
Read full chapter
Yakobo 5:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.