Add parallel Print Page Options

24 (A)“ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa.

Read full chapter

(A)Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza;

Read full chapter

(A)Mukama n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.

Read full chapter

(A)nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”

Read full chapter

14 (A)Abakadde b’Abayudaaya ne bagenda mu maaso n’okuzimba era ne balaba omukisa ng’okutegeeza kwa nnabbi Kaggayi n’okwa nnabbi Zekkaliya muzzukulu wa Ido bwe kwali. Ne bamaliriza okuzimba yeekaalu, ng’ekiragiro kya Katonda wa Isirayiri bwe kyali, era ng’amateeka ga Kuulo, ne Daliyo ne Alutagizerugizi bakabaka b’e Buperusi bwe gaali.

Read full chapter