Okuva 12:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.
Read full chapter
Zabbuli 91:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
Zabbuli 91:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Alikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
Zabbuli 30:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
Isaaya 54:7-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 (B)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.