Okubikkulirwa 5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu.
Read full chapter
Okubikkulirwa 8:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka.
Read full chapter
1 Timoseewo 2:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
Read full chapter
Okuva 29:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi.
Read full chapter
Okuva 29:41
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
41 Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.