Okubikkulirwa 21:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?
Read full chapter
Zabbuli 11:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
Isaaya 40:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
Isaaya 66:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
66 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
Ebikolwa by’Abatume 7:49
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
49 (A)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.