Okubala 35:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 17:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka.
Read full chapter
Matayo 18:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo.
Read full chapter
Yokaana 8:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima.
Read full chapter
2 Abakkolinso 13:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulabula Okusembayo
13 (A)Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde.
Read full chapter
1 Timoseewo 5:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu.
Read full chapter
Abaebbulaniya 10:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.