Makko 12:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Kristo Mwana wa Ani
35 (A)Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi?
Read full chapter
Lukka 21:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
Read full chapter
Yokaana 7:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Ayigiriza ku Mbaga
14 (A)Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza.
Read full chapter
Yokaana 7:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi.
Read full chapter
Yokaana 18:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.