Isaaya 7:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 “Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.”
Read full chapter
Yokaana 2:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”
Read full chapter
Okuva 4:2-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?”
N’addamu nti, “Muggo.”
3 Mukama Katonda n’amugamba nti, “Gusuule wansi.”
Musa n’agusuula wansi; ne gufuuka omusota, n’agudduka! 4 Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. 5 (B)Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.