Isaaya 6:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Katonda Atuma Isaaya
6 (A)Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.
Read full chapter
Isaaya 14:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti
28 (A)Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
Read full chapter
2 Bassekabaka 15:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala[a], ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu[b] mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.
Read full chapterFootnotes
- 15:5 Mu 2By 26:16-21, Katonda yaleeta ku kabaka ebigenge kubanga y’ewa omulimu ogwa bakabona (laba Lv 13:46)
- 15:5 Yosamu yafugira mu kiseera ekyo kyennyini Azaliya ng’akyali mulamu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.