Isaaya 54:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Olinywezebwa mu butuukirivu
era toojoogebwenga,
kubanga tolitya,
onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
Isaaya 58:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
Isaaya 62:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,
era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.
Oliyitibwa erinnya epya
akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.