Isaaya 49:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omuweereza wa Mukama
49 (A)Mumpulirize mmwe ebizinga,
mmwe muwulire kino amawanga agali ewala.
Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita.
Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
Isaaya 49:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Era kaakano Mukama ayogera,
oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we,
okukomyawo Yakobo gy’ali
era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali.
Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama
era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
Yeremiya 1:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
Ebikolwa by’Abatume 9:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.