Isaaya 33:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Atambulira mu butuukirivu,
n’ayogera ebituufu,
oyo atatwala magoba agava mu bubbi,
n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi,
aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta,
n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
Zabbuli 23:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
Engero 28:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,
naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.