Isaaya 20:3-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; 4 (B)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. 5 (C)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe.
Read full chapter
Ezeekyeri 30:4-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ekitala kirirumba Misiri,
n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
obugagga bwe bulitwalibwa
n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
5 (B)Obuwesiyopya, ne Puuti[a], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
Read full chapterFootnotes
- 30:5 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
Ezeekyeri 30:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
Read full chapter
Zeffaniya 2:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zeffaniya 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
balindeetera ssaddaaka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.