Isaaya 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
Isaaya 2:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
okwemanya n’okwewulira.
1 Abakkolinso 1:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Ndizikiriza amagezi g’abagezi,
ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”
2 Abakkolinso 9:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.