Isaaya 2:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Mugende mwekweke mu njazi,
mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
Isaaya 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
Isaaya 2:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Balidduka ne beekukuma mu mpuku
ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.