Isaaya 13:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni
13 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.
Read full chapter
Zekkaliya 13:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.
Read full chapter
Matayo 3:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
Read full chapter
Ezeekyeri 24:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”
Read full chapter
Ezeekyeri 24:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku.
Read full chapter
1 Samwiri 19:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ne yeyambula ebyambalo bye, n’atandika okwogera nga bannabbi mu maaso ga Samwiri. N’abeera bw’atyo olunaku lwonna n’okuzibya obudde. Abantu kyebaava boogera nti, “Ne Sawulo ali mu bannabbi?”
Read full chapter
Mikka 1:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okukaaba n’Okukungubaga
8 (A)Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.