Engero 4:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi,
era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
Mikka 2:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
Isaaya 65:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba
eri abantu abeewagguzze,
abatambulira mu makubo amabi
abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
Zabbuli 52:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
Abaruumi 12:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okwagala
9 (A)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.