Engero 19:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,
oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
Engero 22:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
Engero 23:13-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
kiwonye emmeeme ye okufa.
Engero 29:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,
naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
Engero 29:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe,
alireetera emmeeme yo essanyu.
Abaebbulaniya 12:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula?
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.