Ekyamateeka Olwokubiri 4:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 10:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebikulu Katonda bye Yeetaaga
12 (A)Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna,
Read full chapter
Mikka 6:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.