Ekyamateeka Olwokubiri 32:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
nfumita era ne mponya;
era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
1 Samwiri 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
atwala emagombe ate n’azuukiza.
Isaaya 26:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Naye abafiira mu ggwe balirama,
emibiri gyabwe girizuukira.
Mugolokoke,
muleekaane olw’essanyu.
Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,
ensi erizaala abafudde.
Koseya 13:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?
“Sirimusaasira,
Amosi 9:14-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (B)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
era tebaliggibwa nate
mu nsi gye nabawa,”
bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.