Ebyabaleevi 22:19-25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe. 20 (B)Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga. 21 (C)Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo. 22 Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa. 23 Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo. 24 (D)Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe, 25 (E)wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.