Ebyabaleevi 21:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe.
Read full chapter
2 Bassekabaka 2:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abavubuka basekerera Erisa
23 (A)Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!”
Read full chapter
Isaaya 3:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
n’awaali obulungi waddewo obulambe.
Isaaya 15:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
okukaabira mu ssabo lyabwe.
Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
Isaaya 22:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
n’okwambala ebibukutu.
Ezeekyeri 27:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Balikumwera emitwe gyabwe,
era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
Ezeekyeri 29:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo.
Read full chapter
Amosi 8:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
Mikka 1:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Mukungubage, n’emitwe mugimwe
olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.