Ebyabaleevi 1:14-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 15 (B)Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 16 (C)Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 17 (D)Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Read full chapter
Ebyabaleevi 4:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.