Danyeri 6:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”
Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
Read full chapter
Danyeri 3:4-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Awo omulanzi n’ayogerera waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, n’amawanga, n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, 5 (B)bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 6 (C)Omuntu yenna atalivuunama n’akisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.